Ebiseera ebyasookera ddala, eyo nga okutuuka mu 1920, Abakristu abaali mu Kawanda baalina enkola ey’okwegattanga mu ssaala ez’ekisinde ne mu Ssappule. Okusomanga kuno kwabanga mu maka ag’omukristu omu gwe baabanga balonze. Eklezia eyasooka
Mu mwaka ogwa 1930, Omugenzi Daudi Namukundi yawaayo ettaka okwazimbibwa Eklezia eyasooka. Ekifo kino we wali kaakati essomero erya St. James Buuzabalyawo Primary School. Klezia eno yali ya budongo nga yali eserekeddwa essubi. Ekisomesa kitandika
Mu 1930 nga guggwaako Ekisomesa kyagunjibwawo. Olwo kyali kitwala e Miruka ebiri Musaale A ne B, okwali ebyalo Kawanda – Nkokonjeru, Kirinnyabigo, Kaayi ne Nakyessanja. Ekisomesa olwo kyali kitwalibwa Parish ey’e Gayaza. Olwo okusoma Sunday, okubatiza, kalimweezi, okufuna Confirmansio, okumala omugigi saako n’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu, byonna byali bya ku kigo e Gayaza.
Abakulu abe Gayaza bajjanga mu biseera ebimu, okulambulanga ku Bakristu abaali mu Kisomesa. Bano baasuzibwanga mu maka ag’Omukristu eyabanga alondeddwa Omusomesa. Entambuza y’Ekisomesa
Nazzikuno Omusomesa ye yali avunannyizibwa ku byonna ebifa mu Kisomesa awamu n’okukunngaanya Endobolo okuva mu Bakristu okugitwala e Gayaza. Omusomesa eyasooka e Kawanda yali Omugenzi Yowana Ziriddamu. Ono oluvannyuma yasengukira e Kyanja mu Kyaddondo, n’aweereza nga Omusomesa waayo. Eyo gye yafiira mu 1985, n’aziikibwa awo ku Klezia e Kyanja.
Ziriddamu ono ye yayigiriza Omugenzi Dominiko Mukasa obusomesa era oluvannyuma ye yamuddira mu bigere. Dominiko yali Musomesa e Kawanda
okutuusa lwe yafa mu 1978. Yaziikibwa awo awaali Eklezia eyasooka, ku ssomero lya St. James Buuzabalyawo Primary School.
Okutandika awo mu 1930, waaliwo Abakristu abaali bakolera mu kitongole ekinoonyereza ku by’obulimi – Kawanda Research Station, abaatandika okusenga mu Kisomesa. Bano begatta ku Bakristu abaaliwo, ne batandika okuzimba Eklezia eya matoffaali, oluvannyuma baayongerako ennyumba ey’Omusomesa ssaako n’essomero eryali ery’okuyigirizanga abaana eby’eddiini n’ebyamagezi ag’ensi.
ga okulimirangako emmere. Ekifo kino, kakaati we wali Eklezia empya, eyabbulwamu Omutuukirivu Dominiko awali ekitebe kyaffe ekikulu ekya St. Cyprian Kawanda Parish. Mu 1960, bwe waatandikibwawo Parish eya Jinja Karoli, olwo n’Ekisomesa kino ekye Kawanda ne kizzibwa mu Parish eyo okuva mu ye Gayaza. Awo Abakristu baatandikiriza okuzimba Eklezia eya bbulooka zennyini, era ebisinga ku byakozesebwa mu kuzimba, baabijjanga mu maka gaabwe. Abakristu mu Bukulembeze bw’Ekisomesa Mu biseera ebyasooka, Omusomesa ye yali avunanyizibwa ku Kisomesa kyonna, olwo n’ayambibwako Abakristu ye be yabanga yeerondedde n’abanjula eri Omukulu w’Ekifo. Mu 1967, okulonda abakulembeze kwatandika mu bisomesa nga baalondebwanga Abakristu abakulu ate mu Klezia. Ebifo ebyalondebwa mwe mwali Ssabakristu – Ebiseera ebyo yayitibwanga “Pulezidenti” Omuwandiisi Omuwanika Omukulu w’Abazadde Mu bakulembeze abasooka mwe mwali:- Abagenzi; Joseph Kaggwa, Joseph Matovu, Joseph Musisi, Francis Katumba. Nga mu baalondebwanga ku Kisomesa mwe mwalondebwanga abo abatuulanga ku Parish Council. Mu 1981, Abakulembeze baatandika okulondebwanga okuva ku Bubondo olwo nga n’ebifo eby’obukulembeze byali byeyongeddeko okutuuka ku mukaaga (6). Obubondo mu Kawanda bwali bukyali busatu.
Buli okulonda okwaddiriranga, ebifo eby’obukulembeze byagenda byongerwangako. Mu 2014, Obubondo bwayongerwako okutuukira ddala ku musanvu (7)
Mu 1978, Olukiiko olwe Ssaza ery’e Kampala olwali mu nteekateeka y’okukuza Centenary y’okujja kw’eddiini enkatoliki mu Uganda, lwalina enkyuukakyuka ze lwalangirira. Nga muzo mwe mwali buli Parsh n’Ebisomesa byonna okufunayo Omutuukirivu gwe baba basingira ebifo byaabwe. Ebisomesa byali biyinza okulonda erinnya ery’omukristu omu gwe bamanyi obulungi ate nga mukuukuutivu mu by’eddiini. Olukiiko olw’e Kawanda kye lwava lwalonda Dominiko Omutuukirivu kuba lye lyali erinnya ery’Omusomesa. Entebe ez’omu Eklezia
ntebe ezasooka mu Eklezia, zaaletebwa Omw. Pascali Musoke eyali e Kirinnyabigo. Zino zaali kkumi n’assatu (13) mu mwaka 1998. Mu biseera ebyo entebe ez’essomero ze z’akozesebwanga okutuulwako mu Eklezia. 5
Mu ntandikwa y’okuzimba Eklezia endala, kino kyali kirabo ekyatuweebwa Abakristu abe Proscot (Whiston) Liverpool mu Bungereza eri Ekisomesa. Era nga eno ye yali Omwami n’Omukyala E.N. Mwanje, nga bano be baatutemera omusingi awamu n’okugizimba okutuuka kumpi ku ‘Wall Plate’. Omusingi gwa Eklezia eno gwaweebwa omukisa Rev. Fr. Herman Nsubuga mu January 2002. Mukyala Mwanje ye muwala wa Abagenzi Omwami n’Omukyala Joseph Matovu e Kirinnyabigo.
Eklezia bwe yatuuka ku ‘Wall Plate’ olukiiko olwali luvunanyizibwa ku by’okuzimba nga lukulirwa Mw. Paul Sserubiri ate oluvannyuma olwakulemberwa Mw. Matia Mukasa, nga luli wamu n’Abakristu, baakola kyonna ekisoboka okulaba nga Eklezia eno eggwa. Wadde yali tennaggwa bulungi, yasomerwangamu mu nnaku ezimu naddala olunaku olw’ekisomesa (Sub Parish Day).
Eklezia yakomererwa mu April 2013 ate mu April 2014, olukiiko olw’Ekisomesa nga luli ne Ssabakristu Mr. Michael Ssembajjwe lwasalawo okusengukira ddala okudda mu Eklezia empya. Era ku Easter eya 20/4/2014, okusenguka ne kulangirirwa mu butongole. Weewawo Abakristu baasigala n’omulimu ogwali ogw’amaanyi, ogw’okugiggala n’okugimaliriza obulungi saako n’okugiteekamu byonna ebyetaagisa. Okusituka mu By’ensoma
Abakristu bwe baagenda beeyongera okujjumbira okufuna Amasakramentu, n’okusoma ku Sunday, olukiiko olw’Ekisomesa nga lukulemberwa Mr. Christopher Mwambazi, awo mu 2008, lwasaba Omukulu w’Ekifo Rev. Fr. Gerald Jjuuko akkirize Ekisomesa okuba ne ‘Service’ ebbiri buli lwa Sunday. Olwo Ekisomesa ky’e Kawanda ne kiba ekisaale mu Parish okuba ne ‘services’ ebbiri (2). Ate mu 2009, Omukulu w’Ekifo Rev. Fr. Emmanuel Kalema ng’asinziira ku bujjumbize obwo, yakola entegeka eri Ekisomesa okufunanga Missa kumpi buli lwa Sunday awamu ne ku makya ag’oku Monday ne Tuesday buli week. Enteekateeka eno era yagobererwa n’Omukulu w’Ekifo eyamuddira mu bigere Rev. Fr. Richard Kakoma.
Liba teriri busa, Rev. Fr. Sylevester Buwembo n’atuuka mu Jinja Karoli nga Omukulu w’Ekifo mu October 2018. Enteekateeka eno n’agyongeramu omuzinzi ekisomesa ne kitandika okufuna Missa ku makya buli lunaku.
Awo mu October 2019, Omukulu w’ekifo Rev. Fr. Sylevester Buwembo, yawoma omutwe mu nteekateeka y’okusabira ekisomesa okutegekebwa okuba Parish. Mu ntegeka eno, yayambibwako Rev. Fr. Charles Kimbowa Junior olwo Obubondo St. Andrew – Kirinnyabigo awamu ne St. Noah – Nakyessanja, bwafuulibwa ebisomesa. Omugenzi Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga, lwe yakyalako ku Parish nga 17/01/2021, yakkiriza kw’olwo okujja okulambula ku kifo awali Eklezia ey’ekisomesa ekitegekebwa. Yakulemberwamu Omukulu w’Ekifo Rev. Fr. Sylevester Buwembo ne Ssabakristu waayo Omutaka Grace Bakyayita Kidimbo. Ssabasumba yakkiriza entegeka zonna ezaali zigenda mu maaso era n’awa Rev. Fr. Robert Galiwango okukulemberamu entegeka zonna ez’ekifo okufuulibwa Parish. Yalonda ne Cyprian Omutuukirivu okuba omuwolereza wa Parish. Era nga 7/2/2021, entegeka zonna lwe zaggulwawo mu butongole n’ekitambiro kya Missa. Okwebaza
Twebaza Katonda olw’emirimu gyonna egy’akolebwa abo bonna abaatusookawo. Okulafubana kwaabwe n’okwewayo obuteebalira, bye bituusizza ekifo kyaffe wano we kiri kaakati. Bangi ku bano abaayagala okulaba ku bino bye tulaba kati, naye Omukama n’atabasobozesa
Twebaza n’abo bonna abagyenyigiddemu ensangi zino, Omukama abawe omukisa. Awo nno tusaanidde tufube ffenna okuwagira n’okwongera okunyweza byonna ebitambulizibwako emirimu egikulakulanya ekifo kyaffe. Abakulu mwenna abafuddeyo okutulambika mu kkubo ettuufu, Omukama abongere omukisa. 7